Bya Ivan Ssenabulya
Omulabirizzi wa Mukono diocese Bishop James William Ssebaggala, alaze okutya kuba malaaya, abetunda mu kibuga.
Kati asabye abakulembezze okukola ekisoboka okuyamba, bajje abawala abo ku nguudo.
Bino Bishop Ssebaggala abyogeredde ku Kanisa ya St.Dunstan e Wantoni, bwabadde assaako abaana emikono abasobye mu 60.
Agambye nti waliwo obwelaikirvu kubanga, ba Malaya bagenda beyongera buli lunnaku olukya.