Bya Benjamin Jumbe
Essiga eddamu liguddemu ekikangabwa amakya ga leero, oluvanyuma lwamawulire gokufa kwomulamuzi Jessica Naiga Ayebazibwe.
Omugenzi abadde atuula mu kooti yamaka e Makindye, wabulanga afiridde mu maka ge mu Ndeeba.
Omwogezi we ssiga eddamuzi Solomon Muita akakasizza okufa kwomulamuzi ono, nategeeza nti abalekedde eddibu eryamanyi.
Kati aba family bevumbye akafubo okuteesa ku ntekateeka zokuziika bwezinabeera.
Omugenzi abadde akoze ku kooti yamaka okuviira ddala mu mwaka gwa 2014.