Bya Ritah Kemigisa
Omulamuzi wa kooti ento e Mengo Esther Nansambu, agobye okusaba kwa Fred Nyanzi Ssentamu, okuddamu okubala obululu mu bifo ebimu ebironderwamu.
Nyanzi owekibiina kya NUP, yavuganya ku kifo kyomubaka wamasekati ga Kampala, wabula abadde ayagala waberewo okuddamu okubala obululu mu bifo ebimu ebironderwamu, ngagamba nti awamu ebibalo ku mpapula tebikwatagana nebyo abantu byebalonda.
Awalala abadde alumiriza nti ba agenti be bagobebwa mu bifo ebironderwamu.
Wabula omulamuzi Nansambua agambye nti alemereddwa okulaga obukakafu ku nsonga ze, songa nebimu byeyasaba okusazaamu obuwanguzi bwa Muhamad Nsereko bwebavuganya tekiyinza kukolebwa kooti ento, obuyinza bwa kooti enkulu.
Mu nsonga endala, agambye nti ba agenti ba Nyanzi, tekiyinza kuba nga bagobebebwa mu bifo ebironderwamu atenga bebamu bateeka emikono ku mpapula eziriko ebyava mu kulonda.
Nsereko yalangirirrwa ku bunwaguzi nobululu omutwalo 1 mu 6,900 atenga Nyanzi yafuna obululu omutwalo 1mu 5,900.