Bya Ivan Ssenabulya
Ekkubo eryabantu 3000 abagobanyizibwa ku ttaka e Mubende, okufuna obwenkanya lilabika lizibuwadde.
Kino kidiridde omulamuzi wa kooti enkulu e Mubende Joseph Mulangira, okulagira abantu bano nti omusango gwabwe gwongezeddwayo, nga ssabalamuzi we gwanga yajja okubabauliira lwebanadda mu kooti.
Abantu bano bazze mu kooti olwaleeri wabula kigambibwa nti omulamuzi yegalidde mu wofiisi ye, nga bino atumye musirikale we okubibagamba.
Abantu bano bagobwa George Kaweesi ku bibanja byabwe, nga tebaliyiriddwa, kwekuddukira mu kooti.
Wabula omulamuzi ono Joseph Mulangira, anonyerezebwako bakama be aba Judicila Serevices Comission, ku bigambibwa nti Alaina kyekubiira mu musango guno.
Kati ssenkulu wekitongole kya Witness radio, Geoffrey W. Ssebaggala agambye nti tebagenda kupondooka, kulwanirira bantu bano.