Bya ben Jumbe
Nabbambula w’omuliro akedde kukwata ekifo omuterekebwa aby’amaguzi wali e Ntinda okukakana nga ebintu by’abukadde bitokomose.
Twogedeko ne Joseph Mugisa nga ono y’adumira police ezikiriza omuliro n’atugamba nti omuliro guno gukutte ekifo omuterekebwa engato z’abasubuzi aba-china kko ne toilet papers.
Wabula ono agamba nti mubwangu dala basindise ebimotoka ebizikiriza omuliro 10 okutaasa embeere.