Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi mu disitulikiti y’e Rukungiriis etandise okunonyereza kunfa y’omusajja ategerekese nga James Rwitamanzi owemyaka 38 agambibwa okuba nti yattiddwa mu kulwanagana olwomukazi
Omugenzi abadde mutuuze we Bikunyuin mugombolola ye Ruhinda nga kigambibwa nti yattiddwa William Owakubriho owemyaka 41.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi Elly Matte, atubulidde nti omugenzi neyamusse babadde baganza omukazi omu ategerekese Consolata Owomugisha owemyaka 35.
Matte agamba nti Rwitamanziyabadde akyalideko omugenzi gyasula kwekusangayo musajja munne ne beegwa mu malaka
Owakubariho nomukazi kannaluzala bombi poliisi ebakute.