Bya Ivan Ssenabulya
Omusirikale wa poliisi asimattuse okugajambulwa abatuuze, nga bamulanga okubalemesa okukozesa ebibanja byabwe.
Bino bibadde ku kyalo Kirangira mu gomboloola ye Nama mu district ye Mukono, abatuuze bwebakutte omusairikale ategerekeseeko erya Kakaire nebamukuba empi, nebamugalira nemu nnyumba y’omutuuze.
Bino byekuuse ku nayana ze ttaka omugagga Diika Banooba, lyeyagobako abatuuze ngagamba nti lirye.
Kinajjukirwa nti omukulmbeze w egwanga yatukako mu kifo kino, era nayimiriza obutaddamu kumenya mayumba gabatuuze, wabulanga omusirikale ono yasigala ngakozesebwa okubamalako emirembe.
Police ye Mukono nge’kulembeddwa akulira ebikwekweto Evelyn Nashuha yeyazze netaasa omusirikale waayo ono.