Skip to content Skip to footer

Omusomesa agombedwamu obwala lwa kubba Nte

Bya Abubaker Kirunda,

Omusomesa wa secondary e Kamuli agombedwamu obwala ku bigambibwa nti yabbye ente.

Omukwate mutuuze ku kyalo Kinu mugombolola ye Namwendwa e Kamuli.

Okusinzira ku sentebe wa LC1, Denis Ndaula omukwate yabbye ente mu kiro ekikeseza olwaleero nagikukusa okugitwala mu disitulikiti eye Luuka okugikweka

Wabula abatuuze bamulinye akagere okutuuka gyeyabadde agikukumye nakwatibwa.

Abatuuze bagamba nti omusomesa ono sigwe mulundi gwe ogusoose okubba ku kyalo.

Leave a comment

0.0/5