Bya Shamim Nateebwa
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye naggalawo ttabamiruka wabavubuka abadde abumbujjira ku ku Hotel Africana.
Ttabamiruka abaddewo nga byebimu ku bikujjuko byamattikira jjubireewo agatambulira ku mulamwa ogugamba nti okutekateeka abavubuka nokubakubiriza okwezimba.
Omutanda mu bubaka bwe eri abavubuka abasabye, obutekomoma wabula okukozesa eddoboozi eryamanyi ate erya wamu.
Bbo abavubuuka ba Buganda beyamye okubeerewo wakati mu kusomozebwa okugenda maaso mu gwanga lino, neeri Obuganda.
Minista wabavubuuka nokwewumuzaamu mu Buganda Owek. Henry Ssekabembe Kiberu asiimye omutanda okuddira omulembe gwe naguwa, wano aweze nti tebajja kumutiririra.
Mungeri yeemu abavuvuuka basabiddwa okukozessa omukisa gwabwe okukoola ebintu ebibazimba nokubatwala mu maaso.
Obubaka buno bubaweredwa ssenkulu wekitongole kya Buganda Land Board Owek. Kiwalabye Male, ngategezezza nti abavubuuka balina okutandikawo ebibiina byobwegassi mwebayinza okuyta okuyambibwa.