Bya samuel ssebuliba.
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi akalaatidde abavubuka mu Buganda okujumbira okulima emwanyi, kino kibayambe okwejja mu bwavu nakaakano obukyabayimbya endubaale.
Buno bwebumu kubwabadde obubaka bwa Ssabasajja eri obuganda olunaku olw’eggulo nga Obuganda bujaguza nga bwegiweze emyaka 25 nga ssabasajja ali ku Namulondo.
Omutanda yagambye nti abaganda bagwana batandike okulima emwanyi mubungi bagateko nokuzikolamu kaawa, ayongere okubeera owe tunzi.