Bya Abubaker Kirunda
Omuvubi agudde mu nnyanja nafa, bwabade adduka abalwanyisa envuba embi mu district ye Mayuge.
Omugenzi ye Boniface Okwi, era afiridd, okumpi nomwalo gwe Sagiti ku kyalo Naluwerere mu gombolola ye Jagozi.
Ssentebbe wa LC esooka James Sazi agambye nti omugenzi yalabye abamagye abalwanyisa envuba embi, nabuuka nagwa mu mazzi mwafiridde.
Omugenzi abadde mutuuze mu tawuni kanso ye Bwondha e Mayuge.