Bya Sam Ssebuliba
Waliwo alipoota efulumiziddwa abekitongole ekya UNICEF ekikola ku byabaana eraze nti wegunakonera omwaka 2030 ng’omuwendo gw’abaana abali wansi we myaka 18 gulinye okutuuka ku bu bukadde 170 , olwo bawere obukadde 750 .
Alipoota eno araga nti Africa yetaaga okuteeka ensimbi nyingi mu byobulamu, ebyenjigiriza, kko nokutatira edembe ly’abakyala.
Leila Pakkala, nga y’emukwanaganya wa UNICEF mu buvanjuba kko namaserebngeta ga Africa agambye nt ekitundu kino kigwana okuwandiika abasawo abalala obukadde 5.6 , abasomesa abalala 5.8 wegunakonera omwaka 2030 okusobola okufa ku baana bano abgenda okweyongera.
Ono agamba nti singa engeri gyetuzalamu tekendeere wegunakonera omwaka 2055 nga abaana abali wansi we myaka 18 baweze akawumbi kalamba.