Bya Ruth Anderah
Abatuuze ku byalo okuli Lwanda ne Kasiga-Busaana mu gombolola ye Kapeeka mu district ye Nakaseke, balumirizza avunayizibwa ku kugula nokutunda, ebintu mu kitongole kya KCCA Doreen Tiberondwa okwonoona ebitu byabwe, nokubagobaganya ku bibanja.
Bino babitegezezza ssentebbe wakakiiko akatekebwawo omukulembeze we gwanga, okunonyereza okuzuula ekivaako enkayana ku ttaka, omulamuzi Catherine Bamugemerirwe.
Bagambye nti babadde ku bibanja ono wayagala okubasindikiriza, okuva mu mwaka gwa 1997.
Abatuuze bano babadde bakulembeddwamu John Kabanda, nebalyoka balojja ennakau gyebayiseemu.
Bagambye nti Doreen Tiberondwa yaakagoba amaka 18, nga kati baafuuka mmombozze.
Omulamuzi neba kamisona abalala abauula aku kakiiko kano, bagambye nti bagenda akwongera okunonyereza.