Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district Hoima etandise okunonyereza ku musajja atamanyikiddwa eyasangiddwa, ngelengejjera ku muti, nga bamusazeeko nokugulu okwa kkono.
Bino bibadde ku kyalo Kisiga mu Bujumbura Division e Hoima.
Omugenzi baamusanze ataawa ngoluvanyuma yafudde, wabula bwabadde tanafa agambye nti lab technician e Bweyogerere mu district ye Wakiso.
Omulambo wetwogerera nga gukumibwa mu gwanika lye ddwalir ekkulu mu district ye Hoima, ngokunonyereza kugenda mu maaso okuzuula ebimukwatako na kiki ekyamutuseeko.