Bya Mlaikh Fahad
Abatuuze be Kyazanga mu district ye Lwengo bagudde ku mulambo gwomwana owemyaka 10 abadde yawambibwa omwezi oguwedde.
Omugenzi ye Deus Nyebaza mutabani wa Venasio Mutambuka omutuuze ku kyalo Kibimba B mu gombolola ye Kyazanga.
Omwana ono yawambibwa nga 29 mu mweiz gwomunaana, ngabamuwamba babaddenga basaba bazadde be omusingo gwa bukadde 4 nemitwalo 60 balyoke bamuyimbule.
Ssente zino abazadde zibadde zabalemerera okuwaayo, era olwaleero omulambo bagusanze ku ttale nga guvunda.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Paul Kangave akaksizza ettemu lino, era nategeeza nti okunonyereza kugenda mu maaso.
Agambye nti bakutte abantu 8 abangibaako kyebamanyi, ku kuwmabibwa nokutemulwa kwomwana ono.