Bya Sadat Mbogo
Omuyizi ow’emyaka 13 azaalidde mu kibuuzo ku ssomero lya St. Balikuddembe P/S e Jalamba mu tawuni kanso ye Buwama mu district y’e Mpigi.
Omukulu w’essomero lino Godfrey Ssemanda atubuliidde nti Angel Nakasagga ebisa byamusimbye bwebabadde bakatandika.
Omusawo Goreth, omuzaalisa amuyambyeko okusumulukuka, atubuliidde nti bamutusizza ngomwana anatndise okufuluma.
Kati yye maama we, Nalubega Grace asabye abazirakisa okuyambako omwana we asobole okwyongerayo nemisomo gye asome Secondary.