Skip to content Skip to footer

Palamenti ekungubagidde omulamuzi Kikonyogo

Bya Kyeyune Moses

Palamenti ekungubagidde eyali amyuka ssbalamuzi we gwanga, omugenzi Leticia Mukasa Kikonyogo eyafa wiiki ewedde.

Mu lutuula olwenjawulo akakwungeezi ka leero, omumyuka wa speaker Jacob Oualanyah ayogedde ku mugenzi Kikonyogo ngomulamuzi abadde alafubanira enfuga eyamateeka, obukulembeze obulungi nokwetengerera kwe ssiga eddamuzi.

Ekiteeso ekyokusiima omugenzi nemirimu amakula gyakoledde egwanga kireteddwa omumyuka wa Ssabaminisita General Moses Ali nekiwagirwa omumyuka wakulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, omubaka Roland Mugume.

Gen Moses Ali ategezeza nti omuamuzi Kikonyogo akutte ku bangi, naddala abakyala okuyingira essiga eddamuzi, kubanga libadde okusinga lijuddemu basajja.

Yye omumyuka wa Ssabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana agambye nti okufa kwono kkonde, lyamanyi eri egwanga ne ssiga eddamuzi.

Leave a comment

0.0/5