Skip to content Skip to footer

Palamenti sinsanyufu kumutemwa gwa Uganda ku Mafuta

Bya Damali Mukhaye,

Palamenti simativu ku migabo Uganda gye genda okufuna mu mafuta singa gatandika okusimwa.

Kino kidiridde minisita avunanyizibwa ku byobuggaga ebyensibo, Mary Goretti Kitutu okutegeeza ababaka nti kampuni ya Total yakutwala emigabo gya bitundu 62%, Uganda 15%, Tanzania 15% ate kampuni ya CNOOC 8%.

Wabula agambye nti singa Tanzania ebigyamu enta abalina okutwala omugabo ogusooka ba CNOOC, kudeko Total ate Uganda esembeyo ekintu ekinyiziza ababaka.

Okusinzira ku mubaka wa Busia, Godfrey Macho, nomubaka Muwanga Kivumbi owa Butambala bategezeza nti tekiba kyabwenkanya Uganda nnyini mafuta okufun omugabo gwegumu ne Tanzania omudumu gwamafuta gyegugenda okuyita.

Ababaka bawabudde gavt okwongera okuteesa ku migabo gino ereme okufiirizibwa mu maaso eyo.

Leave a comment

0.0/5