ByaJuliet Nalwoga
Poliisi mu district ye Bugiri eriko abantu 6 begalidde nga bekuusa ku mulenzi owemyaka 2, agambibwa nti baamusadaaka.
Omwana ono yabula 3rd July, oluvanyuma basaanze mulambo mu ssabao wali ku kualo Nankoma.
Abakwate kuliko jaajja we ategerekeseeko erya Scovia Ajambo okuva ku kyalo Matovu A mu gombolola ye Nankoma mu district ye Bugiri.
Abalala akuliko Mujenyi Magidu, Adam Kawanguzi, Hassan Mukama, Badru Mutanda ne Jumma Iganga.
Polly Namaye agambye nti okunonyereza kwabwe kwatandika nga 6, maama womwana bweyaloopa okubula kwomwana we.
Abakwate essaawa yonna bagenda kutwalibwa mu kooti.