Bya Ritah Kemigisa
Poliisi eriko munnansi wa Italy gwekutte ku kisaawe Entebbe lwakukusa njaga.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Patrick Onyango agambye nti omukwate ye Martin Maurice wa myaka 48 nga yasangiddwa nenjaga mu sole zengatto, mu mugugu gwe.
Onyango gambye nti onoagenda kugulwako omusangob gwokukusa ebiragalalagala, nga gwegusinga asasula engasi ya kakadde 1 oba okusibwa amayisa, okusinziira ku mateeka.