Skip to content Skip to footer

Poliisi erabudde ku kutongoza Tojikwatako

Bya Sam Ssebuliba

Police mu Kampala nemiriraano erabudde ababaka ba palamenti nabantu babulijjo, ku ntekateeka zokutongoza wiiki eya ‘’togikkwatako’’ envunula bibya kubanga kinaaba kimenya mateeka.

Wiiki ewedde ababaka ku ludda oluvuganya gavumenti balangirira entekateeka, ezokutongoza Tokikwatako butto, mu nnaku 7, nga bawakanya ekye nongosererza mu ssemateeka, okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Bwabadde ayogerako naffe amakya ga leero, Lucas Owoyesigire omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, asabye ababaka okujja enta mu ntekateeka zino kubanga poliisi tegenda kubaganya.

Ono era asabye nabantu babulijjo obutetaba mu ntekateeka zino, kubanga zimenya mateeka.

Leave a comment

0.0/5