Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ezikriza omuliro egamba ekyagenda mu maaso nokunonyererza ku muliro ogwakutte ekisulo kya Baheesi Hostel, ku MUBS e Nakawa mu Kampala.
Bwabadde ayogerako naffe addumira abazinya mwoto Joseph Mugisa ategezeza nti basindise ekibinja kyabakugu olwaleero okunonyererza okuzuula ekyavuddeko omuliro nokulongoosa ebyayononese.
Ono agamba nti bakutegeeza egwanga wa webanaaba batuuse
Guno gwabadde muliro gwakubiri mu nnaku 2 zokka, oluvanyuma lwabayizi 3 okubuuka nebisago bwebaali betaasa omuliro ku Mary Stuart Hall e Makerere.
Ate abasubuzi ku Traffic, ku midaala gye nyama yembizzi e Mukono gebakaaba gebakomba oluvanyuma lwomuliro ogusanyizaawo emmaali yaabwe.
Mugisa ategezeza nti emidaala 7 gyokka gyejisanyewo, ngejisinga abazinya mwoto basobodde okutaasa.
Poliisi egamba nti omuliro gwavudde ku ssigiri eyalekeddwa mu kamu ku buyumba obwembaawo.