Bya Prossy Kisakye
Poliisi etadde kamera 200 ku kiggwa kya bajjulizi e Namugongo mu kawefube w’okulaba nti eby’okwerinda eri abalamazi biba gulugulu.
Okusinzira ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye omwaka oguwedde abamenyi ba mateeka b’erimbika mu balamazi ne bigendererwa ebyokubba nga kati tebagenda kubaganya.
Namaye agamba nti kamera zino zakuyamba okulengera buli kinaaba kigenda mu maaso ku biggwa by’ombi ekya bakatoliki ne ky’abakristaayo.
Ono agamba nti n’abasirikale baabwe abali mu byambalo ne muleeya bakubeera mu buli kanyomero okulaba nti emikolo giggwa mirembe.
Abalamazi abasoba mu bukadde 4 bebasuubirwa okwetaba mu kujaguza olunaku lw’abajjulizi ba Uganda olubeerawo buli nga 3rd omwezi ogwa ssebo aseka.