Bya Benjamin Jumbe
Poliisi ewakanyizza ebyogerwa abekitongole kya Citizens Coalition of Electoral Democracy in Uganda nti waliwo abakwata mmundu abalumbye wofiisi zaabwe e Nsambya.
Gyebwavuddeko omukwanaganya wemirimu gyekitongole Cryspy Kaheru yategezeza nti waliwo abatamanya ngamba abalumbye wofiisi zaabwe, nebakuba omukuumi nebakuliita ne mmundu ye.
Wabula omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima, wabula omukuumi ategerekese nga Ronald Kyebambe yanywedde nayitawo, embwa okujiyita engwa, ekyawalirizza bakama be okumujjako emmundu.
Kati Kayima asabye ebitongole okukozesa abakuumi abwera 2, okwewala embeera ngeno.