Bya samuel ssebuliba.
Mu gwanga lya Zimbabwe president we gwanga lino Robert Mugabe akaaye n’agoba omumyukawe Emmerson Mnangagwa nga amulanga kumuyisaamu maaso.
Minista akola ku by’amawulire mu gavumenti ya Mugabe , nga ono ye Simon Khaya , agamba nti omukulu Mnangagwa aludde nga anyoomola mukulu munne kwekusalawo okumwejjako.
Kati okugobwa kw’omukulu ono kyongedde okukiraga lwatu nti omukyala Grace Mugabe entebe y’obwa president agyetaaga.