Bya Samuel ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni ategeezeza nga semazinga wa Africa bwatuuse ku mutendera oguvuganya kukatele k’ensi yonna, nga kino kidiridde abakulembeze okutandika okutekateeka obulungi eby’enfuna.
President okwogera bino abadde wano ku wooteri ya serena , nga agulawo tabamiruka w’ebitongole ebiwooza wans World Customs Organization nga ono yetabidwamu abakungu abasoba mu 1000 abavudde mu mawanga 169.
Ono agamba nti mubudde buli Africa yali yakusika kukutu, nga ayagala yagisalirawo naye kaakano yetegese nyo mu by’ensimbi ko n’okuzisiga kale nga erina obwogerero
Kati ono agamba nti okwegatta kwamawanga agamu, nga kwogase n’ebyuma bikali magez biyambye nyo Africa okufuna omuzinzi.