Bya Ndaye Moses.
Omukulembeze w’egwanga Yoweri Museveni ataamidde akakiiko k’ebyokulonda nga agamba nti bano bazembe abawedde emirimo, era nga n’emirimo gyandiba nga gibalemye.
Bweyabadde atongoza obukiiko bw’abakyala obwa NRM wano mu Kampala, president yagambye nti okulonda nga okwali e Jinja East okwawangulwa munnaFDC Paul Mwiru, akakiiko kano kaalemwa okugoba abantu abatali balonzi, okukakana nga NRM ewanguddwa.
Ono agamba nti aludde ebanga nga ategeeza akakiiko nga enkalala zabalonzi bwezijjuddemu abantu abatali balonzi nga n’abalala baafa, kyoka nga bano tebeefirayo, kale nga okumalawo nsonga eno yandiwalirizibwa okukola enkyukakyuka mu kakiiko kano.
Ono agambye nti n’ebitongole ebirara ebitakola bulungi miriimo gyabyo kuliko Uganda investment Authority ne Uganda revenue Authority.