Bya Prossy Kisakye,
Omubaka wa Pulezidenti e Nakawa Herbert Anderson Burora alagidde ba Ssentebe ba LC ku byalo okuwandiisa abatuuze bonna mu Nakawa okulwanyisa bakifeesi abongedde okutigomya abatuuze
Burora asinzidde mu Lukiiko lw’eby’okwerinda oluyitiddwa Meeya w’e Nakawa e Kitintale oluvannyuma lw’abatuuze okwekubira enduula ku bakifeese ababasuza kutebuukye.
Burora agamba nti abatuuze bonna bateekwa okuwandiisibwa mu bwangu era nga alabudde abasirikale abajja enguzi ku bamemyi b’amateeka oluvannyuma ne babata.
Kyokka abatuuze balumiriza basirikale okuba nti bakolagana ne bakifeesi olumala okubakwata babawa enguzi ne babayimbula ne badamu okutigomya abatuuze