Bya Ritah Kemigisa
Minisita we gwanga lya Rwanda owensonga ze bweru Richard Sezibera alabudde, abanya-Rwanda okusigala nga begendereza, obutamala gayingira Uganda, waddenga ensalo ye Gatuna bagenda kujiggula okumala wiiki 2.
Amawulire agava mu gwanga lino, okusinziira ku lupapula lwa New Times, Sezibera agambye nti embeera eriwo tenaterera kyamanyi.
Ensalo eno ebadde yaggalwa okumala emyezi 3 wabulanga, gavumenti yalangiridde nti bagenda kuggula salo eno okumala ebbanga lino okugezesa nokuyisa ebyamaguzi byabwe.
Kinajjukirwa nti Uganda ne Rwanda era babadde nobutakanya, nga Rwanda erumiriza Uganda okukweka abalabe baayo, abagala okusuula gavumenti.