Bya sam Opio.
E Kamuli eyaliko ssentebe wa district eno Salaam Musumba asabye abalimi beeno okutwala okulima nga akalimo, sosi kujjamu mere yakulya yokka.
Musumba okwogera bino abadde alambula abalimi abaliko kebeekoledde mu kitundu kino, n’agamba nti abatuuze bagwana batandike okukozesa enima ey’omulembe kibayambe n’okugaziya ku nfuna yaabwe
Ono agamba nti banna-kamuli baludde nga obudde babutadde mu by’obufuzi ebitayamba, wabula kano kekadde befeeyo ku biseeera byabwe eby’omumaaso nadala nga beegema enjala.