Bya Ivan Ssenabulya
Ssentebbe wa disitulikiti ye Kayunga asangiddwa nga mufu.
Feffekka Sserubogo ngabadde yakalondebwa, asangibwa ngalengejjera ku muti okumpi nenyumba ye Kayunga.
Okusinziir ku musasi wa Spark TV mu kitundu kino, Mukisa Denis, abomunyumba bebamulabye bwebabadde bakedde okugenda mu nnimiro okukoola ennansi.
Mukisa agambye nti mukyala we, abategezeza nga bweyakomyewo awaka akwungeezi keggulo nga teyewulira bulungi era namira eddagala lya puleesa wabula kibaweddeko ate okumusaanga nga yetuze.
Poliisi ezze mu kifo kino nejjayo omulambo, ng’okunonyereza kutandise.
Feffekka Sserubogo era abadde mubaka wa Bugerere, ngakiika mu lukiiko lwa Buganda.