Skip to content Skip to footer

Taata asse omwana we lwakulya micungwa

Poliisi mu distrct ye Pallisa eriko taata gwegalidde nga kigambibwa yatulugunyizza mutabani we, okutuuka okumutta oluvanyuma lwokulya emicungwa.

Ono poliisi emumenye nga James Opio, omutuuze we Kachinga Orwaka mu ggombolola ye Agule.

Okusinziira ku batuuze bano bafunye obutakanya ekyavuddeko olutalo, taata nakuba omwana ekiti ku mutwe.

omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Bukedi, Sowali Kamulya akaksizza okukwatibwa kwa taata ono ngakumibwa ku CPS e Pallisa ku misango gya butemu.

Omugenzi ye Stephen Okurut, abadde owemyaka 13 ngabadde muyizi ku ssomero lya  Nyaguo P/S.

Leave a comment

0.0/5