Bya Juliet Nalwooga
Okunonyereza okwa World Justice Project Rule of Law Index 2020 kutadde Uganda mu kifo ekisooka, mu mawanga ga East Africa agasinga obutagoberera enfuga eyamateeka.
Mu nsi yonna Uganda eri mu kifo kya 117 ku mawanga 128 agatunuliddwa.
Wano mu East Africa egwanga lya Rwanda lyeryakutte ekisooka, mu kgoberera enfuga eyamateeka, nekuddako Tanzania at 93 ne Kenya.
Okunonyereza kuno kukolebwa buli mwaka, ngalipoota yomwaka guno bajifulumizza nga basinziira mu kibuga Washington mu gwanga lya America.
Mu kunonyereza kuno batunuliira empagi 8 ezobukulembeze nobuyinza okuli, obutaberawo bwanguzi, ekwanta ye’ddembe lyobuntu, obutebenkevu, obwenkanya mu mateeka, enkwasisa yamateeka nebirala.
Amawanga amu nsi yonna agsinze okukola obulungi, mu nfuga eyamateeka Denmark yekulembedde.
Amalala kuliko Norway, Finland, Sweden, Netherlands, Germany, New Zealand, Austria ne Canada.