Skip to content Skip to footer

Uganda yakutandika okutunda Amata e Zambia

Bya Juliet Nalwooga,

Eggwanga lya Zambia likiriza Uganda okubaguza tani zámata góbuwunga eziwera 700 buli mwaka.

Senkulu wa Dairy Development Authority Michael Kansiime agambye nti amata gano bakugatwala e Zambia okuyita mu kampuni ya Coca Cola beverages Zambia.

Minisita avunanyizibw aku Magana wano mu ggwanga Bright Rwamirama agambye nti guno mukisa munene nyo Uganda gwefunye naddala eri abalunzi

Leave a comment

0.0/5