Bya Samuel Ssebuliba.
Government evudeyo neyanukula ku bibadde bigambibwa nti abaserikale abalwanyisa envumba embi ku Nyanja badda kubantu okubakuba , okwokya amaato gaabwe , nga kwogase n’okutta abamu.
Bwabadde asoma ekiwandiiko kino mu parliament leero, minister akola ku nsonga z’abaazirwanako, Bright Rwamirama agambye nti ebyogerwa ababaka , ko n’abalunyanja sibituufu, kubanga abajaasi bonna abakola omulimo guno batendeke ekimala.
Ono agamba nti sikituufu nti gwebasanga gwebakwata, kubanga bamanyi obwenyanja obuto ,bamanyi obutimba obukyamu , kale nga abo bokka abamenye amateeka bebakwata.