Skip to content Skip to footer

URA etadde omusolo gwabukadde 337 ku mmotoka ya Bobi

Bya Juliet Nalwooga

Ekitongole ekiwooza kyomusolo mu gwanga, Uganda Revenue Authority bagerese omusolo gwa bukadde 337, ku mmotoka ya Robert Kyagulanyi Ssentamu etayitamu masasai.

Mu bbaluwa eyawnadikiddwa nga 22 April, eri bannamateeka ba Kyagulanyi aba Wameli and Company Advocates Solicitors, URA yategezezza nti bazeemu nebekebejja emmotoka eno Toyota Land cruiser V8 namba number UBJ 667F.

Bagamba nti bakakasizza nti teyitamu masasi ngerina ebintu ebeynjawulo, okuli endabirwamu mu madinisa neku ndabirwamu eyomu maaso.

Kati aba URA balagidde Kyagulanyi ne bannamateeka be, bakwatagane ne amyuka kamisona asasule omusolo guno.

Wabula Kyagulanyi yayise ku mikutu gye muyunga bantu, nategeeza nti mmotoka eno yayingira mu gwanga mu mateeka ngomusolo gwonna ogwetagisa agusasula.

Agambye nti mmotoka yatwalibwa ku Interpol e Kololo, kalenga emitendera gyonna gyagobererwa.

Kyagulanyi yali yawawabira URA mu kooti, ngawakanya ekyokuddamu okwekebejja emmotoka ye wabula yawangulwa omusango guno.

Leave a comment

0.0/5