Skip to content Skip to footer

Abatembeeyi 24 bavunaniddwa

Bya Ruth Anderah

Abatembeeyi 24 bakwatibwa nebavunanwa emisango y’okutembeeya nga tebalina lukusa okuva mu kitongole kya KCCA. 

Kasule Eria ne banne basimbiddwa mu kkooti ya city hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka, Patrick Talisuna era emisango nebajikiriza.

Wabula omulamuzi abalagidde okusasula engasi ya kkooti ya mitwalo 20, abalemereddwa bebake mu kkomera okumala sabiiti 3.

Bano bakwatiddwa okuva mu bitundu ebyenjawulo mu Kampala, nga batembeeya enyama ensiike, Muwongo omusiike, enanansi ensuse, amenvu n’ebirala.

Leave a comment

0.0/5