Bya Ndaye moses.
Ekitongole ekikola ogw’okutereke ensimbi z’abakozi ekya NSSF kitegeezeza nga bwekigenda okuteeka omulaka ku kwongera ku bungi bwabantu abatereke ensimbi mu kitavu kino mu banga ely’emyaka 5 egigya.
Twogedeko n’akulira ekitavu kino Richard Byarugaba, n’agamba nti mu myaka etaano beetaga abateresi abalala obukadde 5 okubeegatako.
Ono agamba nti mu kaseera kano abantu abalina emirimo 10% bokka bebatereka n’ekitavu kino, kyagamba nti tekimala.
Ono agamba nti mu kaseera kano ekitavu kino kirina abantu obukadde 1.7 , wabula nga kubano emitwalo kinaana bokka bebaterekayo buli mwezi.