Skip to content Skip to footer

Omubaka omukyala owa Paliisa alayidde.

Bya Samuel Ssebuliba.

 

Olunaku olwaleero omubaka omukyala ow’e Paliisa district Faith Alupo  lwakubye ebirayiro ng’omubaka wa parliament, oluvanyuma lwa munna FDC gweyali avuganya naye okuwandulwa mu lw’okaano luno.

Ono laayiziddwa kalani wa parliament omukyala Jane kibirige, mu maaso ga speaker wa parliament Rebecca Kadaga.

Kinajukirwa nti Alupo yalangirirwa nga omuwanguzi, oluvanyuma lw’akakiiko k’eby’okulonda okugobayo munna FDC Catherine Achola, nga ensonga z’abutaba nabiwandiiko.

Mukulayira ono awerekedwako  omubaka we dokolo Cecilia Ogwal  n’owe paliisa Jacob Opolot.

Ono ategeezeza nga bwabadde n’obuwagizi mu bantu, kale nga bwekutandibade kuvaamu kwamunna FDC era yandimumezze.

Leave a comment

0.0/5