Amawulire
Abeezibika ez’obugaalo zibasse mu vvi
Abakulu abagambibwa okwezibika ensimbi z’okugula obugaali bu maanyi ga kifuba obwa ba ssentebe gubasse mu vvi
Kubano kwekuli n’eyaali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu John Kasaka
Omulamuzi Catherine Mpagi Bamugemereire era asazizzaamu owkeyimirirwa kwaabwe bwebatyo nebasindikibwa ku mere e Luzira okutuuka nga 17 omwezi guno lwebanaweebwa ekibonerezo.
Omulamuzi agambye nti abakulu bano baddira ensimbi ezaali zisukka mu buwumbi 2 basalawo okuzisasula kkampuni emanyiddwa nga AMAN Industrial Tools and Equipment LTD ate nga bakimanyi bulungi nti yakikwangala
Bano era babadde bavunaanibwa ne Emurut Erongot ,Robert Mwebaze, kko ne Adam Aluma nga bano bbo bassiddwaako n’emisango gy’okuvvoola ofiisi zaabwe.
Bano nno kigambibwa okuba nga beebaluka olukwe lwonna olw’okuyisaamu kkampuni ya AMAN eyali yakatandikibwaawo mu nnaku ttaano nga terina na nsimbi z’etandikirako.
Ensimbi zino zaali zakugulira ba ssentebe bugaali kyokka nga basajja battu tewali kebalako.