Amawulire
Ogwe Bundibuggyo guddamu leero
Okuwulira omusango gwabo abavunanibwa okulumba ekitundu kye Rwenzori nebatta abawerako kuddamu leero maaso ga ssentebe wa kkooti y’amaggye Maj Gen Levy Karuhanga.
Olunaku olweggulo abantu 132 beebaleteddwa mu kkooti wabula olw’obudde obutamala, 125 bokka bebalabiseeko maaso ga Kkooti y’amagye wabula nga mpaawo musango gwonna gwabasomeddwa.
Bano bonna baasindikiddwa ku alimanda mu komera lye Katojo mu disitulikiti ye Fortportal gyebagenda okujjibwa bakomezebwewo mu kkooti olwaleero.
Kkooti era wiiki eno yakuddamu okutuula mu disitulikiti ye Kasese okuwozesa abalala 134 abali mu bitundu ebyo.
Bano bonna basubirizibwa okwetaba mu bulumbaganyi obwakolebwa mu disitulikiti 3 mu bugwanjuba bw’eggwanga okuli Kasese, Bundibugyo ne Ntoroko obwaleka nga abantu abali eyo mu 100 bafu.