Skip to content Skip to footer

Banyaguludda abatunda omwenge

File Photo: Police nga ekola ogwayo
File Photo: Police nga ekola ogwayo

Poliisi ye Buwama mu disitulikiti ye Mpigi eri ku muyiggo gw’ababbi abeeyambisizza emmundu nebateega ba kitunzi ba kampuni y’omwenge eya Blue Nile Distillers mu ttuntu lya leero.

Bano babanyagululidde wali ku Equator e Kayabwe nebakuuliita n’ensimbi eziri mu bukadde amakumi asatu wamu n’amasimu n’ebisumuluzo by’emmotoka bano mwebabadde batambulira.

Okusinziira ku aduumira poliisi ye Buwama Joseph Ayiki, ababbi bano babadde batambulira mu motoka ya buyonjo kika kya premio sso ng’ate ababbiddwa babadde batambulira mu Ipsum .

Kubano kubaddeko omuyindi Balakrishna Sakah n’omusuubuzi w’omwenge mu kabuga ke Buwama, Edward Ssennyomo.

Mu kaseera kano, Afande Ayiki atutegeezazza nti batemezza ku poliisi ye Kalungu ne Masaka ababbi bano gyebakutte nti osanga ob’olyawo banaabakwata nebavunaanibwa ku musango gw’okubbisa emmundu ogugguddwawo mu fayilo  za poliisi.

Leave a comment

0.0/5