Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi aweze okuwereeza bannayuganda n’omutima gumu ssinga anassibwaamu bannayuganda obwesige
Ng’ayogerako eri nasiisi w’omuntu akungaanidde ku kisaawe kya Cricket e Mbale, Mbabazi agambye nti wakusookera kusaba nti Mbale afuulibwe ekibuga kubanga kigisaana
Ono alumbye poliisi n’ategeeza nti bw’eba eyagala abantu okugissaamu ekitiibwa erina okuwereeza abantu nga teriimu kyekubiira
Bw’atuuse ku byobulamu agambye nti kyannaku okulaba nti abantu bakyagenda okufuna ebweru okufuna obujjanjabi ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 150 zeezissibwa mu bujjanjabi buno obusobola okutereera ssinga amalwaliro wano gassibwaamu ebikola
Asuubizza n’okussa amaanyi mu kumalawo ebbula ly’emirimu erimazeeko bannayuganda obwekyusizo.
Mbabazi ayaniriziddwa nasiisi w’omuntu abadde akwatiridde mu kibuga mbale ng’abamu bali ku nguudo ate abalala bawalampye miti okumulabako.
Ono nno yabadde wakusookera ku woteeri ya Protea ayogerako eri abantu kyokka nga tekisobose olw’abantu okuyiika mu Lukiiko nga bagamba tebagaala kulekebwa mabega