Abaana b’eyali omusuubuzi omukuukuutivu mu Kampala Eria Bugembe Kasiwukira bagenze mu kkooti enkulu nga bagaala bafune olukusa okuddukanya ebintu bya kitaabwe.
Bano nga bakulembeddwamu Eron Mpoza ne Claire Naggayi beegatiddwako ne kitaabwe omuto John Ggayi Bugembe.
Ebintu byebasaba bibalirirwamu ensimbi eziwerera ddala obukadde bitaano nga bayise mu bannamateeka baabwe aba Ssekabanja and Company Advocates.
Omusango guli mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu ekola ku nsonga z’amaka Alexandra Nkonge.
Kino wekigyidde nga maama wa abaana bano Sarah Nabikolo ali ku musango gw’akutta kitaabwe era nga ali ku alimanda e Luzira okutuusa kkooti enkulu lw’eri muyita atandike okwewozaako.