Skip to content Skip to footer

Omubaka akwatiddwa lwa ttaka

File Photo: Omubaka eyakwatidwa Gilbert Olanya nga yogeera
File Photo: Omubaka eyakwatidwa Gilbert Olanya nga yogeera

Poliisi mu disitulikiti ye Amuru ekutte omubaka we Kilak Gilbert Olanya ku bigambibwa nti akumye mu bantu omuliro okwekalakaasa olw’ettaka erisangibwa mu kitundu kye Apaa.

Olanya bamukwatidde mu muluka gwe Parabongo ng’ayolekera ekitundu kye Apaa.

Ono webamukwatidde abadde wano n’omubaka omukyala owe Amuru Lucy Akello n’akulira disitulikiti eno Michael Lakony.

Olanya avunaanibwa kukunga bantu kukwata biso okukuuma ettaka lyaabwe okwewala gavumenti okussaako amaggye.

Amyuka aduumira poliisi mu disitulikiti eno Ziku Zata agambye nti ono wakuggulwaako emisangoe gitali gimu.

Leave a comment

0.0/5