
Pulezidenti Museveni kyadaaki alonze abalamazi mu kooti ey’okuntikko n’eyo ejulirwaamu
Abalamuzi abasindikiddwa mu kkooti ey’okuntikko kuliko e Augustine Nshimye, Faith Mwondha, Hon. Opio Aweri, Eldad Mwangusya ne Prof. Lillian Tibatemwa nga bano bonna bajjiddwa mu kkooti ey’okuntikko.
Omulamuzi Alphose Owiny Dollo abadde akola ku misango gy’abatujju abagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010 naye kati asindikiddwa mu kkooti ejulirwaamu.
Abalala abalondeddwa kuliko Elizabeth Musoke ne Paul Mugamba abadde mu kkooti ekola ku gy’obukenuzi kko ne Simon Byabakama, Catherine Bamugemereire, Cheborion Barishaki ne Hellen Obura abasindikiddwa mu kooti ejulirwaamu.
Amannya gaabwe kati gasindikiddwa mu palamenti okusunsulwa