Skip to content Skip to footer

Lukwago azeemu okuwakanya etteeka lyekibuga

Bya Kyeyune Moses

Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago asabye akakiiko ka palamenti akensonga zobwa Presidenti obutakirza tteeka erye nnongosererza erya kibuga era KCCA Amendment Bill, 2017 ngayongedde nalabula nti tteeka bbi nnyo era lyabulabe.

Lukwago abadde alabiseeko neba kansala ba KCCA mu kakiiko akakubirizibwa omubaka omukyala owa district ye Adjumani Jesca Ababiku okwenyonyolako nokuwa endowooza zaabwe ku bbago.

Lukwago agamba nti etteeka ligendereddwamu kukendeeza ku buyinza bwa Lord Mayor ate lifuule Minister, omukulu wekibuga, obutassa kitiibwa mu kusalalwo kwabalonzi.

Asabye nti etteeka litekebwe ku minzaani nga ye ssemateeka we gwanga, obutatyoboola mateeka malala.

Leave a comment

0.0/5