Skip to content Skip to footer

Aba Kaweesi bagala bayimbulwe

Bya Ruth Anderah

Abantu 10 abavunanibwa okutemula eyali omwogezi wa polisi mu gwanga Andrew Felix Kawesi basabye omulamui wa kooti ento etuula e Nakawa okugoba emisango ejibavunanibwa kubanga oludda oluwaabi lulemesezza okuwulira emisango gino okutandika.

Omuwaabi wa gavumenti Joyce Anyango asoose kutegeeza omulamuzi Noah Sajjabi nti okunonyererza kukyagenda mu maaso kalenga betaaga obudde omusango gwongezebweyo, munnamateeka woludda oluwaabi Wameli Anthony kyawakanyizza.

ono agambye nti abantu be bakwatibwa omwaka mulamba emabega, nebatulugunyizbwa e Nalufenya nga kyewunyisa okulaba nti nokutuusa kati omusango guno tegunasindikibwa mu kooti enkulu.

Wameli asabye omusango guno gugobwe, era abantu be bajibweko emisango gyobutujju nobutemu egyabatekebwako.

omulamuzi oluwulidde binop byonna, omusango nagwiongezaayo okutukira ddala nga 17th April womwaka guno.

Leave a comment

0.0/5