Skip to content Skip to footer

Omukazi bamulimbidde ku ssimu nebamutta

Bya Abubaker Kirunda

Omukazi owemyaka 27 attiddwa abatamanya ngamba mu district ye Mayuge.

Omugenzi ye Rose Nantale ngabadde mutuuze we Bwonda zone C mu gombolola ye Malongo.

Ono kigambibwa nti waliwo abamukubira essimu mu kiro kya Sunday nga bamusaba okumusisisnkana, wabula abe waka bagamba nti okuva olwo teyadda, oluvanyuma bazudde mulambo.

DPC Dianah Namutunzi ategezeza nti omulambo baguzudde ku kyalo  Kabondo nga gwasuliddwa ku mabbali ge kkubo, nga kisubirwa nti batuga mutuge.

Omulambo gutwaliddwa e okwabwe e Bugerere mu district ye Kayunga, ngaokunonyereza kwakugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5