Bya Ivan Ssenabulya
Abekibiina kya Democratic Party balayidde okuzira akulul kekikungo, ku kwongeza ekisanja kyomukulembeze we gwanga okuva ku myaka 5 okudda ku myaka 7.
Ssenkaggale wa Nobert Moa abadde ayogera ne banamwulire ku wofiisi zekibiina mu Kampala nagamba nti, bino byebimu ku bigenda okutesebwako mu lutuula lwa NEC babage entekateeka yokuwakanyamu akalulu kano.
Ategezeza nti tebagenda kuwagira kalulu kagamba nti ensonga gyekaliko nfu, egndereddwamu okutumbula obwa nakyemalira.